Bannakibiina kya National Unity Platform basabye akakiiko ke byokulonda okukoma ku bakuuma ddembe abali mu kawefube wo kutimbulula no kuwamba ebipande bya besimbyewo ku kaadi ye kibiina ku bifo ebyenjawulo.

Court declines to block nomination of NUP candidates

Bannakibiina kya National Unity Platform basabye akakiiko ke byokulonda okukoma ku bakuuma ddembe abali mu kawefube wo kutimbulula no kuwamba ebipande bya besimbyewo ku kaadi ye kibiina ku bifo ebyenjawulo.

Omwogezi wa Police Fred Enanga gyebuvuddeko yalangirira nti bakutimbulula ebipande byonna era ebiwambe kubanga byaatimbibwa bubi mu kibuga Kampala nebitundu byeggwanga ebirala.

Bino we bijjidde nga Ministry ye Kampala olwa leero esuubirwa okufulumya obukwakulizo obwatereddwawo okugoberera mu kutimba ebipande bya banabyabufuzi mu Kampala.

Wabula bannakibiina kya National Unity Platform bagamba nti Police kano kabadi keyeekwekamu okutimbulula ebipande byabannakibiina kino kasita bisangibwaako ekifanaanyi kyomukulembeze wekibiina kino.

Ebimu ku bitundu ewali ekizibu kino kuliko munisipaali ye Mukono, Jinja , mu kampala wakati, Busujju, Masaka ,Makindye ngebimu ku bipande bitimbululwa mu mattumbi budde ate ebirala bikuulwaamu amaaso, songa ebirala Police ebiwamba misana ttuku nokukwaata abamu ku bantu beesanga nabyo nga babisuutasuuta.

Betty Nambooze Bakireke omubaka wa munisipaali ye Mukono agambye nti nnaku ntono eziyise Police yagenda mu kitundu kye neewamba ebipande bino, nti ngerumiriza nti ekipande kyomubaka Kyagulanyi kyamukubwa ayambadde ebintu ebyefaanyiriza ebyebitongole ebikuuma ddembe.

Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West asoomozeza akakiiko kebyokulonda kaveeyo katangaaze ku nsonga eno, kakome nekubitongole ebikuuma ddembe okukomya effujjo lino.

Omwogezi wakakiiko kebyokulonda mu ggwanga Paul Bukenya bwatuukiriddwa ku kwemulugunya kwabannabyabufuzi bano agambye nti akakiiko tekanafuna kwemulugunya kuno , kwekubasaba bakutwaale eri akakiiko kano ensonga eno egya kugonjoolwa.

Olunaku olweggulo, ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi yalabudde bannabyabafuzi abatimba ebipande okweewala okubitimba ku mitti gyamasanyalaze, ku bupande bwokunguudo obulungamya ebyentambula, ku pipe za camera enkesi nebirala.