
Ekitongole ekirondoola emirimu gya banekolera gyange ki Private Sector Foundation Uganda (PSFU) kitaddewo enkola mwekigenda okuyita okuyambako kampuni n’ebitongole ebyetaaga okutunda ebyamaguzi mu Democratic Republic of Congo.
Mu nteekateeka eno PSFU yakuyambako kampuni ezo n’obuyambi bw’ensimbi, okukola eby’amaguzi eby’omutindo ogwawaggulu, n’okubitambuza okubituusa ku katale.
Omukwanaganya wa banekolera gyange mu Private Sector Foundation Francis Kisirinya agambye nti DRC ekyalina akatale kanene ddala bannauganda kebalina okukwata amavumbavumba, nga batwalayo ebintu ebyomutindo ate mu bungi obwetaagisa.
Kisirinya agamba nti wadde entambula etuuka mu DRC ekyalina okusomooza kungi, nti naye bakukwatagana ne kampuni z’ennyonyi ezitwala ebyamaguzi mu DRC okusobozesa abasuubuzi okutwala ebyamaguzi ku bisale ebisaamusaamu era bituukeyo mu kiseera ekituufu.

Ssenkulu wa Kampuni etambuza ebyamaguzi munsi ezitali zimu eya Marine Cargo Kenneth Ayebale agamba nti ekikoleddwa Private Sector Foundation kyakwanguya entambuza y’e mirimu gyabwe mu Congo, era nabo betegefu okusaawo embeera esobozesa bannauganda okutunda eby’amaguzi byabwe mu katale akanene.
Mu butongole Democratic Republic of Congo yegatta ku katale koomukago gwa East African Community nga 29 March,2022.
DRC erina abantu abasoba mu bukadde 250, nga bano Uganda n’amawanga amalala agali mu mukago bebatunuulidde okuguza ebyamaguzi byago.
Bisakiddwa: Lubega Mudasiru