President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu alagidde abakulembeze ba NUP ku mitendera gyonna okukulembeza ensonga y’okutuusa eddoboozi ly’abantu abazze bawambibwa, nga n’abamu tebamanyiddwako mayitire.
Kyagulanyi abadde mu lukungaana lwabannamawulire olutudde ku kitebe kya NUP e Kamwokya, nategeeza nti waliwo abakulembeze ba NUP abali mu bifo ebyenjawulo abafuuse kyekisirikidde ku nsonga y’ekiwamba bantu, so nga balina obusobozi obukozesa ebifo byabwe okwogera ku nsonga eno buli kadde.
Abamu ku bavubuka abaali baabuzibwaawo nebatulugunyizibwa nga n’abamu balaze engalo zabwe ezaasalibwako bategezezza banna mawulire nti baayita ku mugo gwa ntaana nga bali mu buwambe, era nga nabamu balemereddwa okunnyonyola ebyabatuukako.
olunaku lwajjo omubaka wa Mityana municipality Francis Zzaake yatuuse n’okulemera ku kazindaalo mu parliament ng’ayogera ku kiwamba bantu, wadde ng’omumyuka wa sipiika yabadde amulagidde ensonga eno esooke erindeko Zzaake kyeyagaanye n’alemera ku kazindaalo.
Sipiika yamusindise mu kakiiko ka parliament akakwasisa empisa yennyonyoleko ku by’okujeemera ebiragiro bya sipiika.
Mu ngeri yeemu akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba yennyamidde olwa government okufuuka kyesirikidde buli lwebavaayo ku nsonga y’ekiwamba bantu, nga n’abantu abamu bawezezza emyaka egisoba mu ebiri nga tebaleetebwa mu kooti kuvunaanibwa.
Mpuuga agambye nti baliko olukalala lw’abantu abagambibwa okuba nti baawambibwa abasirikale b’ebitongole ebikuuma ddembe lwebaayanjulira government nga 06 October,2022, wabula nga n’okutuusa kati tewali kyeyali ekozeewo.