
Government esazeewo okuyita mu bannaddiini n’abakulembeze abalala mu Kasese ne Bulambuli okusomeaa abantu okwamuka ebitundu ebiri mu katyabaga k’amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka.
Minister w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi, nga yakulembeddemu ekibinja ky’abakungu ba government ekimaze ennaku 2 nga kyetegereza embeera mu bitundu ebyo.
Amaka 16 agaafiirwa abantu ku kyalo Kasika mu ggombolola ye Rukoki mu district ye Kasese, baduukiriddwa n’ensimbi enkalu.

Christopher Masereka nga yeyasinga okukosebwa mu mataba gano oluvanyuma lwokufiirwa abantu 11 okwali omukyala, abaana n’aboluganda abalala beyali alabirira, ate nga naye akyanyiga biwundi, agambye nti newankubade akyali mu kusoomozebwa naye ekya president okumuwaayo akasimbi kimuzizaamu ku ssuubi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis