President Yoweri Kaguta Museveni alagidde abantu bonna okutandika okwanjula ebbaluwa ezikakasa nti begemesa ekirwadde ki COVID19, nga tebanaba kukkirizibwa kuyingira mu nkiiko zonna oba mu bifo by’olukale byonna, ng’omu ku Kawefube aleteddwa okuziyiza ensasaana y’obulwadde bwa COVID19
President ayisizza ekiragiro kino akawungeezi ka leero bw’abadde ayogerako eri eggwanga, ng’alambika ku kirwadde kya Covid 19, kyagambye nti kizzeemu okukwata bannauganda.
President Museveni ategezeza nti ebiwandiiko ebiri mu Minsitry y’eby’obulamu biraga nti abantu 50 bebasangibwamu obulwadde bwa COVID19 buli wiiki, ate ng’omuwendo gw’abakwatibwa gugenda gweyongerako buli kadde.
Mu kwogera kwe, President Museveni agambye nti enteekateeka ez’okwegemesa okwetangira obulwadde bwa COVID19 yengeri yokka egenda okuyitibwamu okubulinnya ku nfeete, era naalagira nti tewali akkirizibwa kuyingira mu nkiiko oba bifo by’olukale nga tebasoose kulaga bukakaffu nti begemesa
President Museveni era agambye nti omuntu atalina bbaluwa eraga nti yegemesa okwetangira COVID19 atekeddwa okuba ng’alina ebikakasa nti yakebeddwa nasangibwa nga talina bulwadde bwa COVID19.
Mu mbeera yemu President Museveni alagidde Ministry y’eby’obulamu mbagirawo okuttukiza enteekateeka zonna ez’okugema abantu okwetangira obulwadde bwa COVID19.
Ku bikwata ku bulwadde bwa Ebola President Museveni agambye nti eggwanga ligenda limulinnya ku nfeete
Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Acheng wano waweereddwa akazindaalo.n’ategeeza nti tebakyafuna balwadde bangi nga bwegwali nga bwakatandika.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico