
President Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alagidde ministry yébyettaka etandike okubala abantu bonna abalina ettaka mu ggwanga , kiyambeko government okuteekerateekera bonna abatalirina.
Entekateeka eno okusinziira ku minister omubeezi owébyettaka Persisi Namuganda , etandika akadde konna, kyokka nga wakyaliwo okwekeneenya engeri abantu mu bitundu omuli enkaayana gyebayinza okuyambibwako naddala nga mu kitundu kya Sango Bay.
Minister Namuganza ategeezezza nti enteekateeka eno tegendereddwamu kukosa bannyini ttaka mu ggwanga, wabula kuyambako government kufuna engeri gyenaakolaganamu nabo, okuyamba abatalina ttaka okubaako kyebakola mu mirembe.
Namuganza agambye nti era government erina enteekateeka essaawo kooti ezinataawululanga enkayana z’ettaka mu bitundu.
Gyebuvuddeko omubaka omukyala akiikirira Kiboga mu parliament Christine Kaaya Nakimwero, yaakasaba president Museveni ayanjulire eggwanga alipoota ekwata ku mivuyo gyéttaka mu ggwanga, eyamuweebwa omulamuzi Catherine Bamugemereyire.
Bisakiddwa: Kato Denis