President Yoweri Kaguta Museveni n’omukyala Janat Museven bakungubagidde abadde Nnaabakyala wa BungereA Queen Elizabeth II.
Babadde ku kitebe kya Bungereza mu Uganda, nebassa emikono mu kitabo ky’abakungubazi.
Baaniriziddwa omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey.
Sipiika wa parliament Anita Among naye abaddeyo n’ateeka omukono mu kitabo ky’abakungubazi.