President Museveni asabye bannauganda nti babeere bagumiikiriza olw’ebbeeyi y’amafuta, nti nga government bweyongera okusala amagezi.
Byerinamu essuubi mwemuli okukozesa emmotoka ne pikipiki ezikozesa amasannyalaze, eggaali y’omukka, n’okuganyulwa mu mafuta gaayo gesuubira okuyiikuula akadde konna.
President Museveni mu kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero, azeemu okukaatiriza nti gavumenti ye eriko bingi byeteekateeka okukwasizaako abantu abali mu kunyigirizibwa olw’ebbeeyi y’amafuta, kyokka nti obuzibu businze kuva ku mawanga agaagala okuggyawo okukoza emmotoka z’amafuta.
Museveni mungeri yeemu azeemu okwogera nti banna Uganda bakyalemye okuteeka omutindo ogwamanyi ku mmwanyi, neebyamaguzi ebirala mu ggwanga ekifiirizza abantu abasinga.
Agambye nti okuteeka omutindo ku bintu ebikolebwa wano kyekigenda okuyambako eggwanga okuva mu bwavu, n’okutuuka ku nkulakulana eyegombesa.
Awadde eky’okulabirako eky’abalima embidde, nti basaanye okulekeraawo okutunda amabidde,wabula bagagatteko omuwendo nga bagasogolamu omubisi, okukola omwenge omuganda n’okufumba waragi basobole okufuna ensimbi ezeegasa okuva mu mabidde.
Awadde eky’okulabirako ekirala eky’emmwanyi nti Uganda erina okukoma okutunda Kase ebweru w’eggwanga, wabula okuzikolamu ebintu ebyenjawulo ebireeta sente ennyingi okusinga okutunda kibooko ne kase kyayise ”okusaka”
Aleese bannamakolero abagatta bus n’abakola pikipiki ezikozesa amasannyalaze,zagambye nti zikekkereza sente, ebbeeyi ntono, zigumira embeera ya Uganda, tezonoona butonde bwansi n’ebirala.
Wabula abamu ku bannamakolero abagatta bus, ezisaabaza abantu bangi mu ggwanga, ssibamativu n’ebitongole bya government ebikyalemeddwa okuteekesa mu nkola ekiragiro kya president, ekyobutaddamu kugula bus ezireeteddwa nga ziwedde okuyungibwa okuva ebweru wa Uganda.
Bus ezo zirina kugulibwa ku makolero agazigattidde wano, nga zongeddwako omutindo.
Bano bebamu ku beetabye mu kwogera kwa president Museven eri eggwanga, ku bwetegefu bwa Uganda mu kutaasa bantu abakoseddwa ebbeeyi y’amafuta eyekanamye.
Bategezezza president nti newankubadde yayisa ekiragiro mu mwaka gwa 2019, eri ebitongole bya government obutagula mmotoka nga bus ne loole ebweru wa Uganda, ebisinga tebiteekesa mu nkola kiragiro kino, ekibaviiriddeko okufiirizibwa.
Metu Katabaazi, ssenkulu wa kampuni ya Metu Zongutongo Bus Industries, esangibwa e Namanve abamu ku bakola bus mu Uganda, agambye nti president asaanidde okuddamu okuyisa ebiragiro ebijja ku bakulembeze b’ebitongole byabwe.
Ankole Doreen Birungi, omu ku ba yinginiya mu kampuni eno agambye nti baatandisedda ku ddimu ly’okufulumya bus ezikozesa amasanyalaze, era nga batandisewo n’ekitebe ekirala e Kasese.
President Museveni abasuubizza nti government yerina okusookerwako okuwagira amakolero ga wano munda mu ggwanga.
Awadde eku’okulabirako nti okuva lweyazuula essaati ennungi ezikolebwa wano mu Uganda, nti zayambala zokka nebwabeera agenda mu nkungaana ennene ez’amawanga g’ebweru.
President Museveni era gambye nti agenda kuzaawo amakolero agaagattanga omutindo ku birime ebyaretanga ensimbi eziwera okuli amajaani, ppamba n’ebirala.
Mu ngeri yeemu asaasidde abantu abaafiiriddwa ababwe mu mataba agaakosezza ebitundu by’obuvanjuba bwa Uganda.
Agambye nti olukiiko lwa ba minister wiiki ejja lugenda kuyisa amateeka n’ebiragiro ebiggya, okulwanyisa abonoona obutonde bw’ensi era abavuddeko amataba, ekyeya, endwadde n’ebirala.