
President Yoweri Kaguta Museven akungubagidde eyaliko minister w’obutebenkevu Gen Elly Tumwine, era ategezezza nti obulwadde bwa kkokoolo w’amawuggwe bwebumusse.
Agambye nti ayogedde ne mukyala w’omugenzi, namutegeeza nti Tumwine afudde makya ga leero mu Kenya nga busaasaana, essaawa zibadde kkumi neemu n’eddakiika 46 (5:46am).
Mu bubaka bwe obw’okubikira eggwanga, president agambye nti yasooka okulaba n’okusomesa Tumwine mu ssomero lya Burunga Primary School mu 1967, nga president Museven yakamaliriza A-level era awo yali yeteekateeka kugenda ku University.
“Countrymen and Countrywomen, especially the NRM- NRA- UPDF fraternity.
With deep sorrow, I announce the death of General Elly Tumwiine which occurred at 5:46am this morning in Nairobi, from lung cancer.
According to his widow, with whom I have just talked to on telephone, Gen. Tumwiine was now 68 years old. I had taught him at Burunga Primary School in 1967, after our A-levels, as a student teacher, before going to University, later that year”
President Museven annyonyodde nti Tumwine yoomu ku bantu 9000 abegatta ku kibiina kya FRONASA mu 1979, ye Museven kyeyali akulira.
Oluvannyuma yagenda nayongera okutendekebwa mu by’amagye mu Monduli Military School mu Tanzania.
Nga 6th February, 1981, e Kabamba Tumwine yeyasooka okutulisa essasi eryali emmanduso y’olutalo lw’ekiyeekera 1981 – 1986, olwaleeta government ya NRM mu buyinza.
President Museven agambye nti okuva olwo Gen.Elly Tumwine azze aweereza mu bukulembeze obw’enjawulo mu magye ne mu government eya wakati nga minister w’obutebenkevu.
Asaasidde amagye olw’okuviibwako omuntu abadde omukozi, era aweerezza eggwanga lye obuteebalira.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wa UPDF Brig.Gen. Felix Kulaigye, kiraze nti mu biseera by’olutalo, Elly Tumwine yakubwa essasi mu bitundu bye Bukomero mu Bulemeezi nerimuggyamu eriiso.