Paapa emeritus Benedict XVI afudde ku myaka 95 egy’obukulu.
Pope Benedict ng’amannya ge amazaale ye Joseph Ratzinger yazaalibwanga 1927.
Obubaka obufulumiziddwa okuva e Vatican bulaze nti Paapa Benedict afudde ku ssaawa saatu 9:45 ezokumakya nga 31 December,2022 mu Mater Ecclesiae Monastery e Vatican.
Paapa Benedixt yalekulira obuvunaanyizibwa bw’ekifo kya Paapa emyaka 9 egiyise, bweyategeeza nti yali anafuye nga takyasobola kutwala mu maaso buvunaanyizibwa buno.