Police ya Jinja Road eriko emmundu gyeezudde mu kinnya kya kabuyonjo e Kireka, ng’erimu amasasi 22.
Emmundu eno yeemu ku mmundu ezabbibwa mu barracks ye Kireka nga 14.11.2022, era kigambibwa nti omu ku benyigira mu kubba emmundu eno yatemwa olubale naddusibwa mu ddwaliro lya Naggulu China.

Kitegeerekese nti omugoba wa Bodaboda eyatwala kalibutemu ono mu ddwaliro, yeyaddayo mu kifo weyali amusanze n’abagulizaako ku beyasangawo gyeyali amututte.
Omukwate nga ye Onekalit John olukwatiddwa nabuuzibwa akana naakataano, alagiridde police nti emmundu eyali yabbibwa ku muserikale eri mu kinnya kya Kabuyonjo mweyagisuula era bwatyo emulagidde akisime agiggyeyo.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Onekalit atwaliddwa ku police ya Jinja road gy’akuumibwa
Bisakiddwa: Kato Denis