Omuduumizi wa police mu Kampala n’emiriraano Senior Commissioner of Police Steven Tanui ayisizza ekiragiro nti abantu babulijjo bonna abenyigidde mu kukwata abavuzi ba bodaboda mu bikwekweto ebigenda mu maaso nti bakwatibwe bunambiro olw’okwefuula kyebatali.
Tanui era ayisizza ekiragiro eri buli musirikale eyekobaana n’okukozesa abantu ba bulijjo okuwamba pikipiki za bodaboda, nti kimenya mateeka.
Tanui agambye nti era kimenya mateeka okukozesa abantu ba bulijjo emirimu egirina okukolebwa aba police obutereevu, omuli n’ebikwekweto ebigenda mu maaso ku ba bodaboda.
Annyonyodde nti abasirikale balina okukozesa obukodyo bwabwe ng’abatendeke okukwata aba bodaboda abatalina bisaanyizo, mu kifo ky’okukozesa abantu ba bulijjo okubakwata.
Tanui mu kiragiro kyayisizza alagidde abagoba ba bodaboda bonna abakwatibwa abantu abali mu ngoye za bulijjo, nti bekubire enduulu mu wofiisi ye bayambibwe.
Ekiragiro kino wekijjidde nga abagoba ba bodaboda bangi bazze beemulugunya ku bantu ba bulijjo abatali basirikale abeekobaana ne police nebabowa pikipiki zabwe, n’ekigendererwa ekyokubafunamu ensimbi.
Bisakiddwa: Kato Denis