Police erabudde bannansi naddala bannyini bifo omucakalirwamu,okubeera abegendereza ku bikolwa ebyobutujju ebiyinza okubalukawo mu kaseera nga ensi yonna yeetegekera okulaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna, ogugenda okubeera e Quatar okutandika nga 20.11.2022.
Police mu kulabula kuno etaddewo ebiragiro ebyenjawulo, omuli bannyini bifo omulabirwa omupiira okukolagana n’abebyokwerinda ,okubeera ku kamera eziketta ebiba bikolebwa okwetoloola ebifo buli kiseera, okussa obuuma obuketta abantu abayingira mu bifo ebisanyukirwamu n’ebintu ebyobulabe omuli bbomu n’emmundu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi ekikulu e Naggulu, omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza nti abantu balina okuba abegendereza nti kubanga abaakola obulumbaganyi ku Uganda mu mwaka 2010 omwafiira abantu 74 n’abalala nebakosebwa bakyasobola okuddamu ekintu kyeekimu nebalumya Uganda.
Enanga mungeri yeemu ajjukizza eggwanga ku bulumbaganyi obwakolebwa ku kitebe kya police mu Kampala ne ku Parliamentary Avenue nga 16.11.2021 nemufiiramu abantu 4, n’abalala nebakosebwa.
Bisakiddwa: Kato Denis