Amagye ne Police gazinzeeko ekitundu kyonna ekye Busiika mu district ye Luweero, bafuuza abazigu b’emmundu abaalumbye police ye Busiika mu kiro ekikeesezza leero nebatta abasirikale, nebanyaga ne mmundu 2.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Busiika Patrick Lule agambye nti ekitundu kye Busiika kyonna kiyiiriddwamu abakuuma ddembe, bebulunguludde buli kasonda, okufuuza abantu bonna abaabadde mu lukwe.
Okusinziira ku police abazigu abaalumbye police baabadde 7 nga balina n’emmundu, era nga baabadde begabanyizaamu ebibinja 3.
Olwatuuse ku police eno nebasindirira abasirikale bebaasanzeewo amasasi agattiddewo Wagaluka Alex abadde akulira okunonyereza ku police station eno ne Ongol Moses.
Mu kiwandiiko omwogezi wa Police mu ggwanga Fred Enanga kyafulumizza, kitegezezza nti mu bulumbaganyi buno, abazigu baalumizi abasirikale abalala babiri okuli Ochom Adrian ne Odama Stephen.
Abaalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro ly’amagye e Bombo nga bali mu mbeera mbi.
Fred Enanga ategezeza nti abazigu bano baagezezaako okwokya ekitebe kya Police kino n’ekigendererwa eky’okusanyaawo Fayiro z’emisango ezenjawulo, wabula abatuuze be Busiika baddukiridde nebaguzikiza n’okutaasa ebintu ebirala obutasaanawo
Mu mbeera yemu Fred Enanga ategezeza nti newankubadde ekigendererwa ky’abazigu bano tekinaba kuteregekeka, nti naye olw’okuba basse ate nebalumya abasirikale ba police, nebabba n’emundu 2 kiraga nti babadde bagenderedde kubba mmundu.
Minister w’ensonga ez’omunda mu ggwanga Gen Kahinda Otaffire ategezezza nti waliwo abantu bebasuubiriza okubeera emabega w’ebikolwa bino eby’okulumba abasirikale,n’ekigendererwa eky’okubabbako mu kunonyereza kwebaliko.
Gyebuvuddeko era waliwo abazigu abaalumba abasirikale ba police y’ebidduka abaali basudde emisanvu ku luguudo lwe Luweero nebabatemateema, era nebakuuliita n’emmundu.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico