Police ekutte banakibina kya Democratic Party nebaggalira mu kadduukulu kaayo ku police ya old Kampala ku nsonga ezitanategerekeka.
Abakwate kuliko Lubega mukaaku. Dr.Tom balojja ssentebe wa DP mu Kyotera, Dick Lukyamuzi, Edrine Kibuuka n’abalala.
Banna DP babadde mu gombolola ye Lubaga gyebabadde bategese olukungaana lwabwe, okutema empenda ku kyebalina okuzaawo oluvannyuma lwa president wabwe Nobert Mao, okukola endagaano ewaayo DP okukolagana n’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.
Oluvannyuma lw’endagaano eno Mao yaweereddwa ekifo kya minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, era nga waliwo ne ba memba abalala bataano abagambibwa nti bagenda kuwebwa ebifo ebirala okuli ne ssaabawandiisi w’ekibiina Dr.Gerald Ssiranda.
Omubaka wa Buikwe South Dr.Mike Lulume Bayiga agambye nti tebagenda kukkiriza police kubalemesa kukola mirimu gya kibiina kyabwe, era neyewera nti tebagenda kusirika busirisi ng’abakulu badibaga ekibiina so nga kirina ba memba abalala abatakkiririza ku kwegatta ku NRM.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius