Police e Katwe mu Kampala etandise okunoonyereza ku ngeri omwana ow’emyaka 2 Lubega Brighton Denis gyeyafuddemu, ng’ali mu mikono gy’Omusajja ateeberezebwa okuba kitaawe.
Omukyala Mugonza Sandra omutuuze ku kyalo Kanyanya Zone Ndejje mu Makindye Ssaabagabo Wakiso, agamba nti yawulira mutabaniwe ng’alaajanira mu kisenge, omusajja Lubega Denis ateeberezebwa okuba kitaawe mweyabadde amusibidde.
Sarah Mugonza weyatandikidde okukuba enduulu eyasombye abantu,olwo Lubega n’avaayo n’omwana ng’amusitudde naamuggunda ku ttaka.
Ekikolwa kino kyatabudde abatuuze nebamukuba emiggo oluvannyuma nebamukwaasa police.
Baagenze okukwata ku mwana nga mufu, era omulambogwe police neguggyawo negutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti omukwate nga makanika waabidduka e Katwe, bagenda kumutwala akeberebwe obwongo bamanye bwayimiridde.
Biaakiddwa: Kato Denis