Police mu kampala ekutte abavubuka abeyita abékisinde kya Ukraine Solidarity Committee Uganda, abakedde okwekalakaasiza mu Kampala nga bawakanya olutalo olugenda mu maaso mu Ukraine nti lubonyabonyeza ensi yonna.
Abavubuka bano bagala abakulembeze bámawanga baveeyo néddoboozi eryómwanguka, era basalewo lumu olutalo luno lukome.
Abavubuka bano basimbudde ku park empya mu Kampala nga bakutte ebipande ebivumirira olutalo olwo n’abakulembeze okusirika obusirisi nga amawanga amalala gabonabona olw’olutalo luno.
Ekibinja ky’’abavubuka bano kikulembedwamuAlex Makanga nga bagamba nti bakooye okuwulira abakulembeze nga bagamba nti obwavu nókulinnya kwébintu okuli mu Uganda, kuvudde ku lutalo luno.
Abavubuka bano bagamba nti bakooye okubonabona okubeera mu bwavu naye nga ekibabonyabonya lutalo lwa Russia.

Police nga tenabakwata basoose kwogerako ne banna mawulire mwebategeerezza nti enjala eyolekedde okubatta nga tebakyasobola kwetusaako wadde Chapati (ekikomando) olwébbeeyi yé𝝶𝝶ano erinnye ennyo, olwólutalo lwa Russia ne Ukraine.
Bagamba nti okutwaliza awamu nébbeeyi yémmere endala eri waggulu, olwébbeeyi yámafuta etutte ekiseera nga tekisalikako.
Okuva mu mwezi gwókuna ebbeeyi yémafuta nébyamaguzi ebirala ezze erinnya, ngábakulu mu government baali baasuubizza nti gaali gakukka mu mwezi guno ogwómunaana, wabula nókutuuka kati tewanabaawo bubonero bwonna bulaga nti gayinza okukka.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven lweyasembayo okwogerako eri eggwanga, ku nkomerero yómwezi oguyise, yawa bannauganda amagezi okwongera okukekkereza byebalinawo, era nga n’ekyebbeeyi yámafuta okubeera waggulu yagamba nti kati obwanga babwolekezza kyakukola mmotoka ezikozesa amasannyalaze néntambula zéggaali yómukka.