Police mu West Nile eggaddewo ekkolero lya Waragi erya City 5 erisangibwa mu district ye Arua, nga kigambibwa nti waragi waayo ekika kya pine Apple flavored Gin alimu obutwa.
Ekkolero lino lisangibwa ku kyalo Luluwiki Kasua mu district ye Arua.
Omuwendo gwábantu abaakafa waragi ono ateeberezebwa okuba ow’obutwa gutuuse ku bantu 12, nga bamu district ye Arua ne Madi-Okollo.
Abantu abalala abasukka mu 20 abaanywedde ku waragi ono bali mu malwaliro agatali gamu bafuna obujanjabi.
Ayogerera police mu West Nile Josephine Angucia, agambye nti ekkolero lya waragi City 5 liggaddwawo okusobizesa police nékitongole ekikola ku mutindo ki UNBS okusooka okunoonyereza bituuke ku kinyusi.
Bisakiddwa: Kato Denis