
Omu ku batandisi ba Radio Galaxy FM Pius Kamugisha afiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku Entebbe Express Highway mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Omwogezi wa police y’ebidduka Faridah Nampiima agambye nti emmotoka ya Kamugisha etomereganye nendala, nga zombi zibadde ziva Entebbe nga zolekera ku ludda e Busega.

Emmotoka ya ministry y’ebyokwerinda UG 0382D Toyota Hilux eyabadde evugibwa LT Col Byaruhabga Ephraim, yetomereganye ne Benz UBK 320P ebadde evugibwa Pius Kamugisha afiiridde mu kkubo ng’addusibwa mu ddwaliro.
Nampiima agambye nti Benz olwamaze okutomeregana ne Toyota Hillux, Benz neewaba netomera ebikondo ebiri ku kkubo ebyagikasuse neyeefuula emirundi egyaweze.

Pius Kamugisha abadde mwami wa mukozi munnaffe ku CBS FM Esther Wamala, omusunsuzi omukulu ow’amawulire ku Mmanduso 89.2.#