
Parliament wiiki eno lwesuubirwa okukubaganya ebirowoozo ku alipoota y’akakiiko kaayo akeddembe ly’obuntu akabadde kanoonyereza ku bantu abagambibwa okubuzibwawo ebitongole ebikuuma ddembe, wabula nga tebamanyiddwako mayitire.
Mu alipoota y’akakiiko kano tekaawadde ssuubi lyonna eri abooluganda lw’abantu abaabula.
Ku bantu abaabuzibwawo amannya agasinga okwogerwako kuliko John Damulira, Mathew Kafeero, Mathew Kigozi ,Sarah Namayanja ,Agnes Nabwire, George Kasumba ne Ibrahim Chekede.
Kigambibwa nti baawambibwa mu bitundu okuli Kampala ,Mukono ,Kyotera ,Mpigi ne Masaka
Akakiiko k’eggwanga akakola ku ddembe ly’obuntu aka Uganda Humanrights Commission kaalopera kanaako aka parliament akalondoola eddembe ly’obuntu, nekakategeeza nti abantu abo kaabanoonya buli wamu ne mu bitongole byeby’okwerinda byonna mu ggwanga wabula baabula.
Abooluganda lwabantu bano okusinziira ku kakiiko k’eggwanga ak’eddembe ly’obuntu batuuka nokwekubira omulanga eri kooti eyise ekiragiro eri ebitongole byebyokwerinda, nti bitwale abantu abo mu kkooti nga balamu oba bafu, wabula nti nakati tebatwalibwa ga mu kkooti.
Akakiiko ka parliament akalondoola eddembe ly’obuntu obuvunaanyizibwa bw’okubanoonya kabuzizaayo eri ebitongole ebikuuma ddembe nti binoonye abantu abo gyebali.
Akakiiiko Kano akakulemberwa omubaka Fox Odoi mu alipoota yaako eri parliament, kalaze nti nako ensonga ziringa ezaakasobedde nti kubanga ebitongole ebikuuma ddembe abantu byabegaana nti tebimanyi gyebali.
Akakiiko Kano mu alipoota yaako eri palament kawabudde government nti eteekewo enkola esobola okuyitibwamu okulondoola bannansi ababeera babuze.
Kinnajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kwogera kwe ku bantu abaali baawambibwa ebitongole byebyokwerinda ,aliko abantu beyakakasa nti amagye gegaabalina era nti baali bakumibwa ekitongole ki SFC ne CMI, wabula nokutuusa kati abamu ku bantu abo tebamanyiddwako mayitire.