
Parliament olwaleero essuubirwa okuyisa ennongosereza mu tteeka ly’enzirukanya y’emirimu mu KCCA, era nga ziteereddwa ku lukalala lwebigenda okuteesebwako (order paper ).
Akakiiko ka parliament akalondoola ensonga zobwa president kekekenenyezza ennongosereza mu tteeka lya KCCA lino.
Ezimu ku nnongoosereza zekaayisizza,akulira oludda okw’ekikugu mu kitongole kya KCCA, ajjiddwako obuyinza obw’okwanjula embalirira y’ekibuga Kampala mu lukiiko lwaba kansala.
Obuyinza bwonna obwokwanjula embalirira eno buteereddwa mu kakiiko ka City Executive Committee akakulirwa lord mayor w’ekibuga Kampala.
Ebiseera ebiyise wabaddewo okusika omuguwa wakati woludda okw’ekikugu olwa KCCA n’oludda lwa City Executive Committee, ku alina obuyinza okwanjula embalirira y’ekibuga Kampala eri olukiiko lwaba kansala okugikubaganyako ebirowoozo n’okugiyisa.
Obuzibu bubadde buva ku nnyingo eye 19 ey’etteeka erirungamya entambuza y’emirimu mu Kampala, eyali yassa obuyinza buno muwofiisi zombi eyakulira ebyekikugu mu Kampala neya City executive committee.
Akakiiko ka parliament akalondoola ensonga zobwa president ,akabadde kekeneenya ennongosereza mu tteeka lya KCCA Kati kasazeewo nti akatundu 19(F) kajjibwe mu tteeka lya KCCA, obuyinza bwonna obwenkomeredde obw’okwanjula embalirira ya KCCA bussibwe mu mikono gyolukiiko lwa Lord mayor w’ekibuga oluyitibwa City Executive Committee
Akakiiko kano era kawadde minister wa Kampala obuyinza, nga yebuuza ku minister w’ebyensimbi ne minister w’abakozi ba government okugereka emisaala n’ensako yonna eyabakulembeze abalonde mu kibuga Kampala, okuviira ddala ku Lord Mayor ,ba mayor bamagombolola agakola ekibuga ,ba kansala ku mitendera gyonna saako ba sipiika era ku mitendera gyonna egy’ekibuga Kampala.
Kinnajjukirwa nti parliament bweyakola ennongosereza mu tteeka lya KCCA mu mwaka 2019 n’esaawo ebifo byaba sipiika, okuli owa city Hall naba divisions ,ate omusaala gwaabwe n’ensako yaabwe teyassibwamu mu tteeka lino.
Ba sipiika abaaliwo ekisanja ekiwedde okwali Abubaker Kawalya n’omumyuka we saako ab’amagombolola baali tebasasulwa nsako yadde omusaala.
Kino kyekyawaliriza government okuzaayo etteeka lino mu parliament ensonga eno eteerezebwe.
Ensonda mu kakiiko ka parliament akabadde kazekeneenya, kabuulidde CBS nti minister wa Kampala ng’akolera wamu ne minister w’ebyensimbi wamu ne minister w’abakozi ba government agenda kugerekera ba sipiika bano emisaala gyabwe n’ensako batandike okusasulwa.
Mu bikaanyiziddwako akakiiko, ba sipiika bonna abaaliwo ekisanja ekiyise neba sipiika abaliwo kati, bonna bakusasulwa omusaala gwabwe n’ensako gyebataafuna eby’emyaka egiyise.