
Ensonga y’obutali bw’enkanya mu nsasula y’abasomesa aba science ne Arts mu masomero ga government, yesoose ku mwanjo mu ntuula za parliament nga yakava mu luwummula.
Parliament erangiridde nti egenda kwetegereza ensonga eno,ekyaviirako abasomesa ba Arts okwediiima nebazira okusomesa okumala ebbanga eribadde lyolekera okuwera wiiki 3.
Mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwakatandika, abasomesa ba science baayongezebwa emisaala, ekyanyiiza abasomesa ba Arts olw’okulekebwa ebbali.
Olunaku olweggulo, baasisinkanye president Yoweri Kaguta Museveni ne Mukyala we era minister w’ebyenjigiriza e Kololo, abqabalagidde badde mangu mu bibiina nga government bwekola ku nsonga zabwe.
Baasazizaamu akeediimo kabwe era olwaleero bazeeyo mu bibiina.
Sipiika wa parliament Anita Among bwabadde aggulawo olutuula lwa parliament agambye nti ensonga y’okusasula abasomesa ensimbi ezitakwatagana, bamu nebasuusuutibwa okukira ku balala ssi kyabwenkanya era kinyigiriza abalala.
Anita Among mu mbeera eno alagidde ssaabaminisita w’eggwanga Robinah Nabbanja Musaafiiri atwale alipoota ekwata ku misaala gy’abasomesa, n’amakubo agessimba government gettaddewo okutereeeza obutali bwenkanya buno.
Sipiika akinogaanyizza nti abantu bangi abataasoma sciences wabula nga balina bingi byebakoze mu ggwanga lino, nga noolwekyo kiba kikyamu abasomesa ba Arts okusosolebwa batyo
Parliament eyagala etunule mu alipoota eno erabe bweyinza okuyamba,bwekiba kyakusala ssente efune wezisala.
Among asabye abasomesa baddeyo mu bibiina basomese n’omutima gumu ,nga parliament ne cabinent bwezetegereza ensonga zabwe.
Omubaka omukyala owa district ye Dokolo Cecilia Ogwal abuulidde parliament nti ebyenjigiriza bigenda kwonoonekera ddala ,era nti embeera eno yetaaga okugonjoolwa amangu.
Nampala w’oludda oluvuganya government JohnBaptist Nambeshe abuulidde parliament nti nga ssaabaminisita ateekateeka alipoota eyo, ajjukire nti abasomesa bokka ssi bebeetaaga emisaala.
Aagambye nto naabakozi ba government ez’ebitundu baalalise dda nti bagenda kuteeka wansi ebikola okutandiika ne wiiki eno, kwekujjukiza gavument egonjoole ekizibu okusinga okugisiiga akazigo, n’okutiisatiisa abakozi.
Agambye nti embeera y’ebyenfuna eyeyongedde okwekanama ekosezza abakozi bonna aba government n’ebitongole byobwannannyini, so ng’emisaala tegikyuka, nga nabamu kati emisaala gigwera mu bisale bya ntambula nga bagenda ku mirimu.