Parliament eyisizza alipoota y’akakiiko kaayo akakwasisa empisa ,eyasemba nti minister omubeezi ow’ettaka Persis Namugamza agyibwemu obwesige.
Aparliament eranga minister Namuganza olw’okugiyisaamu amaaso, l bweyawakanya alipoota eyakolebwa parliament ku ttaka lye Naggulu, eyamulumiriza okukola vvulugu mu ngabanya y’ettaka lino eri abantu abagambibwa nti bamusiga nsimbi.
Minister Namuganza parliament bw’abadde tebatandiika kukubaganya birowoozo ku alipoota ye, abuulidde parliament nti yagiwawabidde mu kkooti ya ssemateeka, ng’ayagala kooti ekome ku parliament ereme kwongera kuteesa ku nsonga eyo.
Wabula minister Namuganza ayongedde akukawangamula n’ategeeza nti bwebaba bamuvunaana kweyisa bubi ,naye wakusaba omukisa okusaayo okwemulugunya kwe mu parliament , ku neeyisa ya Sipiika Anita Among n’omwami we Moses Magogo.
Namuganza agamvye nti ababiri abo benyigira mu bufumbo bwagambye nti baabufuna mu ngeri eyekifere ,eneeyisa gyagambye nti eweebula nnyo parliament n’okusinga byebamuvunaana ye nga minister.
Wabula Thomas Tayebwa omumyuka wa sipiika agambye nti parliament ebadde tebafuna mpaaba ya kkooti, songa ku nsonga ya Sipiika Anita Among ne Moses Magogo , Thomas Tayebwa anenyezza minister nagamba nti avudde ku mulamwa songa yabadde atandise bulungi emsongaze.
Mu kukubaganya ebirowoozo kuno, omubaka wa Kassambya Daudi Kabanda alumiriza omubaka Moses Walyoomu nti yafunye ensimbi okuva eri minister Namuganza okugulirira ababaka bamubeererewo ,wabula amyuka sipiika Thomas Tayebwa batwadde Kabanda kunninga okulaga obujjulizi abadde tabulina.
Moses Walyoomu ebimwogeddwako abyegaanyi, naagamba ye ssi mulyi wanguzi ng’abalala.
Ssabaminister weggwanga Robinah Nabbanja asabye ababaka babeeremu akobuntu basonyiwe Namuganza, era naye n’amusaba okwetondera parliament.
“Honourable members if I hurt you in any way I apologise” Minister Persis Namuganza
Wabula Namuganza bweyotonze ,ababaka bagaanyi okwetonda kwe ,bagambye nti akukoze mu ngeri yakunyooma nokusaaga.#