
Paaka ya taxi ebadde yassibwa mu kitoogo kye Busega mu Kampala ku luguudo oludda e Mityana eggaddwawo enkya ya leero, mu kawefube w’okutaasa obutonde bw’ensi.
Paaka eno ebaddemu emmotoka ezigenda e Mityana, Mubende ne Fortportal, ezigenda e Ntebbe, endala zibadde zidda ku luguudo lwa Northern Bypass okutuuka e Bweyogerere.
Amagye ne police gakedde kunkya negalagira mmotoka za taxi n’abasuubuzi bonna ababadde baazimbamu amidaala okwamuka ekifo ekyo.

Gyebuvuddeko president Museven yalabula abantu bonna abali mu bifo by’entobazi okuzaamuka, nti bebavuddeko okutyoboola obutonde bwensi, ekireese ekyeya n’amataba agatta abantu.