Eyaliko omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Owek.Appolo Nelson Makubuya agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Ann Nakayenga Jjuuko ssenkulu wa Stanbic bank.
Ebirayiro by’obufumbo obutukuvu babikubidde mu lutikko y’omutukuvu paul e Namirembe.
Ssabalabirizi w’ennakisa ya Uganda Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, yagasse abagole.
Asabye abagole munsi yonna okukuumanga ebirayiro byabwe, kibayambe okunyweza obufumbo.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Prof Twaha Kigongo Kawaase awadde abaagalana amagezi, okutambulira mu kwagalana, okuwangana ekitiibwa n’Okwekwasa Katonda.
Omukolo guno gwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Ba Nnaalinnya Jajja w’Obuyisiraamu Omulangira Dr .Kasim Nakibinge,omulangira David Namugala, abamyuka ba katikkiro bonna, bakatikkiro abaawummula, ba minister mu Bwakabaka ne mu government eyawakati, bassekulu bebitongole ebyenjawulo n’abantu abalala bangi.
Omukolo gw’okwanjula gwali Zirobwe mu Bulemeezi.