Owa UPDF eyabba emmundu mu nkambi e Jinja, akubiddwa amasasi agamuss
Amagye g’eggwanga aga UPDF gasse eyali omujaasi waago avunaanyizibwa okutendeka enkozesa y’emmundu mu nkambi ya Magye eya Gaddafi Baracks e Jinja.
Omwogezi wa UPDF Brig Felix Kulayigye egambye nti omusirikale waayo attiddwa nti yali nebanne abakyabuze, bebaalumba enkambi eno gyebuvuddeko nebatta omujaasi wa UPDF nókubba emmundu 2 kika kya SMG, ku mulyango oguyingira mu nkambi oguli ku Ambercourt road
Sgt. Simon Peter Eyagu nga 17th omwezi guno ogwa November,2022 yakubwa amasasi naafa, olwo abazigu nebakuuliita n’emmundu bbiri, ng’emu yali yamunne eyali agimulekedde okugenda okunoonya eky’okulya.
Akawungeezi ka leero omu ku batemu bano azinduukiriziddwa mu bikajjo bya Kakira, kyokka mukugezaako okumukwata nákuba omu kubasirikale b’amagye essasi erimuggye mu budde, oluvanyuma naye nakubibwa amasasi agamutiddewo.
Omwogezi wa UPDF Brig Felix Kulayigye ategezezza nti emmundu zombi ezabbibwa zizuuliddwa, wabula ebikwekweto bikyagenda mu maaso okuzuula akabinja kábazigu bano.
Bisakiddwa: Ssebuliba William