
Club ya Onduparaka FC eya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League ekansizza abazannyi abapya 11 okwongera okuggumiza ttiimu eno.
Abazannyi bano ye Norman Angufidru gwe bafunye okuva mu club ya Calvary, Joel Abaliwano okuva mu Busia Fisheries, Stephen Odongo okuva mu Kiwanga United, Munir Saidi okuva mu Pakwach Young Stars, Ibrahim Ekellot okuva mu Busoga United, Amos Muwonge okuva mu Wakiso Giants, Abonga Dominic okuva mu Kiryadongo United n’abalala.
Onduparaka era eviiriddwako abazannyi abawerako okuli eyabadde captain wabwe Shaban Muhammad eyagenze mu club ya KCCA, Norman Ogik eyagenze mu Wakiso Giants, Okello Ivan ne Jimmy Ndalambi abagenze mu Blacks Power, Patrick Matovu yagenze mu URA, Micheal Kagiri ne Abasi Kateregga abagenze mu Kitara.
Onduparaka egenda kutandika sizon ejja n’omutendesi omuggya Haruna Mawa n’omumyukawe Hamuza Kalanzi.
Abazannyi okuli Rashid Okocha, Mathias Muwanga, Gasper Adriko, Davis Mayanja ne Gaddafi Gadinho bayongezaayo endagano zabwe ne club eno.

Mungeri yeemu Onduparaka egenda kutandika sizoni ejja n’okusasula ebbanja lya bubonero 2 obwagisalibwako FUFA, mu sizoni ewedde olw’ebikolwa ebyefujjo byebaayolesa ku mupiira nga battunka ne Arua Hill, mu kisaawe kya Green Light mu Arua mu mwezi ogw’okutaano omwaka guno 2022.
Onduparaka era emipiira gyayo egisooka ewaka 5 egenda kugikyaliza ku kisaawe ky’amagye e Bombo olw’ekkoligo eryagitekebwako FUFA olw’ebikolwa ebyefujjo.
Oluvanyuma lw’emipiira gino 5 awo ejja kuddayo mu maka gaayo aga Green Light Stadium mu Arua.
Onduparaka omupiira gwayo ogusooka sizoni eno egenda kuttunka ne URA mu kisaawe e Nakisunga Mukono nga 01 October,2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe