Obwakabaka bwa Buganda butongozza omwoleso gwa Buganda, ogutuumiddwa Omwoleso Gaggadde Mega Expo 2022.
Omwoleso guno gwakumala ennaku 10 mu Lubiri e Mengo, okuva nga 19 okutuuka nga 28 omwezi ogujja ogwa August.

Bwabadde atongoza omwoleso guno mu Bulange e Mengo, Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Past District Governor Owek Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti omwoleso guno gugenda kwongera okulambika ennono za Buganda, n’okulaga obuvo n’obuddo bw’obwakabaka, n’ebintu ebirala bingi eby’ebyafaayo.

Owek Waggwa Nsibirwa, asabye abantu ba Buganda okujjumbira omwoleso, nookuleeta abaana babwe kuba gulimu ebyokuyiga ebyenjawulo n’okuyigiriza abaana empisa nennono za Buganda.
Owek David Kyewalabye Male, minister avunanyizibwa ku nnono, emibiri, eby’obulambuzi nebyokwerinda, agambye nti kisaanidde abantu ba Buganda okwetaba mu mwoleso guno, okwerabirako ku bintu nkumu byebabadde bawulira obuwulizi.

Ssenkulu Victoria Kayaga ne Benon Ntambi ssentebe w’olukiiko lwa Buganda Heritage and Tourism Board, (BHTB), nabo basabye abazadde okuleeta abaana mu mwoleso, nti kubanga babategekeddemu ebintu bingi
Lubuulwa Moses, omutandisi wa Kampuni yebivvulu eya Luba Events abateeseteese omwoleso guno, agambye nti enteekateeka egendereddemu okuwagira ensonga zobwakabaka n’okulaga ensi ebikwata ku nnono za Buganda.
Okuyingira mu mwoleso abakulu baakusasula 5000/= ate abaana abato 3000/=.
Ebitongole ebyenjawulo okuli bank z’eby’obusuubuzi, Amatendekero ne ssetendekero ez’enjawulo, ebika bya Buganda nebirala byakwolesa mu mwoleso guno.
Omwoleso Gaggadde Mega Expo 2022 guwagiddwa kampuni okuli CBS , BBS, Buganda land Board, Centenary Bank, Sadolin paints, Sany, Highmark Uganda nabalala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis