Omwana ow’emyaka 16 afumise mukulu we ekiso naafa, amulanze kugaana kumuwa ku shs 2000 zebaatunze mu mata.
Enjega Eno egudde ku kyalo Kisana mu district ye Kassanda.
omugenzi ye Kamuhangire Wilson abadde wa myaka 20, ng’ono mutowe Muneziro Stephen myaka 16 yamufumise ekiso ekimuggye mu budde.
Omwogezi wa police mu Bendobendo lya Wamala, Recheal Kawala agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lya Kassanda health center IV, so nga ye Muneziro bamulina mu kaduukulu kabwe nga bweboongera okunoonyereza.