Omuntu omu yeyaakannyululwa mu mazzi g’omwala gwe Nalukolongo, ku bantu ababiri abaaguddemu enkya ya leero mu nkuba ekedde efudemba.
Okusinziira ku police ababiri bano baaguddemu ku ssaawa nga bbiri ez’enkya ya leero.
Abatuuze bekozeemu omulimu nga bagezaako okubataasa , bazuddeko omuntu omu gwebasanze nga yafudde dda.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire agambye nti omuyiggo gw’omuntu omulala gukyagenda mu maaso, naasaba abantu okukomya okutambulira mu bitundu ebyobulabe ng’enkuba etonnya.
Bisakiddwa: Kato Denis