Omubiri gw’Omuzaana Mary Nankumbi Ssimbwa guterekeddwa mu Masiro e Kasubi Nabulagala.
Omuzaana Nankumbi y’abadde mukyala w’omugenzi David Alexander Ssimbwa,eyali taata omuto owa Ssaabasajja Kabaka.
Wasooseewo okusabira omugenzi Nankumbi mu lutikko e Namirembe, kukulembeddwamu omulabirizi eyawummula Kitaffe mu katonda Samuel Balagadde Ssekkadde.
Bishop Ssekadde asabye abalangira n’abambejja okwongera okwekwasa Omutonzi, era mu ngeri eyenjawulo naatendereza olulyo olulangira okukulemberamu enteekateeka y’okuleeta kuno eddiini.

Okusaba kuno Katikkiro wa Bganda Charles Peter Mayiga akwetabyemu, n’agamba nti Omuzaana n’abazaana abalala bakoze kinene okutebenkeza Obwakabaka, naddala nga bayita mu kubudaabuda abalangira mu biseera ebizibu ddala.
Yebazizza Omuzaana Nankumbi Ssimbwa olw’okulera obulungi abalangira n’abambejja, mu biseera Obwakabaka webwabeerera mu kusoomozebwa okutagambika.
Omulangira Joseph Mulondo ku lw’Abenju y’Omulangira yeebazizza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’Obuyambi obwenkizo bwabadde awa Omuzaana.
Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni akiikiriddwa amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi.

Oluvannyuma lw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’omugenzi Mary Nankumbi Ssimbwa mu lutikko e Namirembe, omubiri gwe guterekeddwa mu masiro e Kasubi.
Obwakabaka bukiikiriddwa omumyuka wa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Ahmed Lwasa.
Abeebitiibwa bangi abetabye mu kutereka omuzaana okuli Owek Joseph Mulwanyammuli Ssimwogerere, Omulangira David Kintu Wassajja Ssaabalangira Godfrey Musanje Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, abalangira n’abambejja n’abantu abalala bangi ddala.
Bisakiddwa: Kato Denis