
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze Obuganda bwonna okwongera okujjumbira okugula emijoozi gya Kabaka Birthday run 2022 egigenda okubaawo nga 3rd July, nókugwera mu ssaza lya Beene Buddu e Masaka, okubugiriza Maaso Mooji eyasiimye okulabikako eri Obuganda mu kuggulawo empaka z’emipiira gy’amasaza 2022, gigenda kubaawo ku lwomukaaga luno nga 25 June.
Katikkiro abadde asisinkanye omuyimbi David Lutalo ne kitunziwe Yasin Kaweesi, abaguze emijoozi gy’emisinde 100 mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye agambye nti kisobokera ddala okukozesa ebitone okulwanyisa endwadde enkambwe munsi yonna, nga mukenenya néndala.
Katikkiro awadde bannabitone amagezi okumanya nti emirimu gyebakola gyankizo era givaamu ensimbi mpitirivu, naabasaba okugiwa ekitiibwa ekimala n’obudde , ate bafulumye obubaka obulimu ensa.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’okweewummuza mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu agambye nti okukiika kwa David Lutalo e Mbuga kabonero akalaga nti muntu ayagala ennyo Obwakabakabwe, era awa ekyókulabirako ekirungi eri abavubuka.
David Lutalo mu kwogerakwe yebazizza Obwakabaka olwokulabira ewala néssaawo emikutu gy’ebyempuliziganya egitumbudde abavubuka mu bisaawe ebyenjawulo, neyeeyama okuwagira enteekateeka z’obwakabaka endala nyingi.
Bisakiddwa: Kato Denis