Omuwala wa myaka 23 asangiddwa afiiridde mu Lodge gyeyabadde agenze okusula neyaliko muganziwe.
Entiisa eno egudde mu kabuga ke Buziika mu kibuga kye Njeru mu district ye Buikwe.
Omu ku bawala abakola mu Lodge zino ataagadde kumwatuukiriza mannya ategezezza nti omugenzi ne bba bwe baatuuse ku lodge akawungeezi, baaweereddwa akasenge kokusulamu no.7, kyokka kibabuseeko ate bwe basanze omulambo nga guli mu room No.2 .
Okusinziira ku mwogezi wa police mu Ssezibwa region, Hellen Butoto Omuwala afiiridde mu lodge ategerekese nti ye Abbo Gloria myaka 23, era nga yabadde n’omusajja ayitibwa Fred Toko.
Agambye nti byebaakazuulawo biraga nti Abbo yali yazaala mu musajja Fred Toko omwana omu nebaawukana, era omuwala naddayo ewabwe e Tororo.
Afande Butoto era ategezezza nti omulambo tegusangiddwako buvune bwonna, wabula nga gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro eddene e Jinja okwekebejebwa.
Toko Fred agambibwa okuyingira mu lodge n’omuwala ono takubikako kya mulubaale, era police etandise okumuweenja ajiyambeko mu kunoonyereza.