Omutaka Kiggye ye jjaja owa akasolya owe ekika ky’empeewo, akabbiro kabwe Kayozi obutaka busangibwa ku lusozi Bubiro -Ngogwe essaza Kyaggwe.
Omutaka Kiggye Paul Daniel Mbazzi eyavudde mu bulamu bwensi eno abadde Kiggye owe 13.
Asuubirwa okuziikibwa nga 09.12,2022 ku lwomukaaga lwa wiiki eno.
Okusinzira ku jjaja Waggala Joseph Lubanga amyuka Katikkiro w’ekika kino,
Kiggye ng’afudde aziikibwa mu mbugo 350 , entaana ya ffuti 15, era nga balina obulombolombo bungi obukolebwa nga tanaziikibwa.
Omutaka kiggye alondebwa mu masiga 4 ag’ennono mu kika ky’e Mpeewo.
1. Essiga lya mpiima.
2.Essiga lya Nunda
3.Essiga lya kiyimba ne
4. Essiga lya Kinonko.
Mu Buganda Abe mpeewo be bakola omulimu gwo obwa kibaale. Kibaale ye mutaka ataawulula Kabaka singa abeera asowaganye n’abantu be.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher