Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omutaka Kiggye omuggya omukulu w’ekika ky’Empeewo eyazze mu bigere bya Kiggye eyaseerera (eyafa) gyebuvuddeko.
Katikkiro w’ekika ky’Empeewo Ssaalongo Musisi Kalemba y’ayanjudde Omutaka Kkulubya Henry eri Kamalabyonna mu Bulange e Mengo.
Katikkiro Mayiga agambye nti enteekateeka zaakukolebwa Omutaka Omuggya ayanjulwe mu butongole eri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Kamalabyonna agambye nti Obukulu bw’ekika buvunaanyizibwa era mulimu munene ddala ogusaanidde okukwatibwa n’obwegendereza n’okwebuuza ku babalala, bwatyo n’asaba Omutaka Kiggye omuggya okwekwata ku bakulu olw’obuwabuzi.
Omutaka Kiggye omubuze Daniel Paul Mbazzi aterekebwa nkya ku Lwokuna nga 15 December, 2022 ku butaka e Bubiro, era wakuziikwa mu mbugo 350!
Minista w’obuwangwa n’ennono ow’ekitiibwa David Kiwalabye Male agambye nti ekika ky’Empeewo kirina amasiga 30, wabula mulimu ana (4) omuva omukulu w’ekika mu mpalo.
Ku gano kuliko essiga lya Mpiima nga lino lyakavaamu ba Kiggye basatu (3), Essiga lya Nnunda (3), Essiga lya Kiyimba 2 n’Essiga lya Kinonko babiri (2).
Omutaka alangiriddwa ajjiddwa mu Ssiga lya Kiyimba oluvannyuma lw’okuteesa n’amasiga amalala.
Owek. Kiwalabye agambye nti ku mulembe guno Omutebi, Abataka bonna abakulu b’ebika bakuba ebirayiro okubakakasa ku bukulu buno, n’okuwera nti baakukuuma ekitiibwa ekibaweereddwa, okwewala enkola z’abaana babwe okukkira eby’obugagga by’ekika okubyekomya n’okubitunda.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.