OMULWANIRIZI W'EDDEMBE LY'OBUNTU SSABALABIRIZI DESMOND TUTU AFUDDE YEBASE

Ssabalabirizi Desmond Tutu bwabadde afaanana

Ssabalabirizi Desmond Tutu omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu kayingo mu South Africa avudde mu bulamu bwensi ku myaka egy'obukulu 90.

Afiiridde mu kifo ewalabirirwa abakadde ekya Oasis Frail Centre mu Cape town.
Dr.Raphela Maphela akolanga akulira ekitongole kya Archibishop Desmond Tutu IP Trust ategezezza nti Tutu asangiddwa ng'afiiridde mu buliri wabula tayogedde kimusse.

Mu myaka gye 1990 yakeberebwa n'azuulibwamu kkokoolo wa Prostate, natandika obujanjabi bw'amazeeko ekiseera ekiwanvu.

Ssabalabirizi Desmond Tutu ye muddugavu eyasooka mu byafaayo okufuuka Omulabirizi we Ssaza lye Johannesburg wakati wa 1985-1986, era nafuuka Ssabalabirizi eyasooka owe Ssaza ekkulu erye Cape Town lyeyakulembera okumala emyaka kkumi wakati wa 1986 - 1996.

Omukulembeze wa South Africa Cyril Ramaphosa ayogedde ku Ssabalabirizi Desmond Tutu nti abadde Munnaddiini ow'ensonga, omuziranamige eyakola ennyo okumalawo obufuzi bw'ekikabbulu n'obusosoze mu langi, so nga n'okulwanirira eddembe ly'obuntu okwetoloola ensi yonna byakumujjukirirwako lubeerera.

''Omwagazi w'ensi ye atenkanika, omukulembeze ow'ensonga, omubuulizi w'enjiri ey'ebikolwa era etuuka ku buli muntu". Ramaphosa ng'ayogera ku ssabalabirizi omugenzi Desmond Tutu.

Agambye nti bwolowooza ku mugenzi Nelson Mandera eyasooka okufuuka president wa South Africa ng'obufuzi bwekikabbulu bukomye, awamu n'omugenzi ssabalabirizi Desmond Tutu olutalo lw'okulwanyisa obufuzi bw'ekikabbulu mu South Africa obeera oluwumbyewumbye.

Obufuzi bw'ekikabbulu n'obusosoze mu langi bwamaamira South Africa okusingira ddala wakati wa 1948 okutuuka mu 1991.

Mu mwaka gwa 1984 Ssabalabirizi Desmond Tutu yagonnomolwako engule y'omuntu asinga okutakabanira emirembe mu nsi yonna eya Nobel peace prize,olw'okwewaayo kweyayolesa okuvumirira n'okulwanyisa obukabbulu mu South Africa n'ensi endala.

Wafiiridde nga wakayita myezi bwezi ng'eyasembayo okukulemberamu gavumenti z'ekikabbulu mu South Africa FW de Clerk kyajje ave mu bulamu bwensi, yafiira ku myaka 85.

Desmond Tutu afiiridde ku myaka 90 egy'obukulu yazaalibwa nga 07.October 1931. Afudde nga 26.December.2021.

President Ceril Ramaphosa alangiridde okumukungubagira wonna mu South Africa okumala wiiki namba, olwo aziikibwe ku lusooka omwaka 2022.