Eyaliko omwami wa Kabaka ow’essaza Washington DC mu America Owek. Omulangira Fredrick Kalema Musoke agattiddwa ne kabiite we Eunice Nnaamala Kajubi mu bufumbo obutukuvu mu Kkanisa Lutikko e Namirembe.
Bagattiddwa Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Bishop Samuel Balagadde Ssekkadde n’obubaka obwokukuumagana mu mukwano ogwannamaddala.
Bwabadde abuulira mu kusaba kw’okugatta abagole bano, Rev. Canon Ssenkeeto Albert Samuel awabudde abagole okutambuliza obufumbo bwabwe ku mulembe baleme kwekuumira nnyo mu mirembe mikadde.
Canon Ssenkeeto era ababuuliridde obutatambuliza bufumbo bwabwe ku bwabalala, wabula mu mbeera eyeetaaga okwogerezeganya buli omu awulirize nga munne.
Mu bubaka bwa Katikkiro obwetikkiddwa omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwagga Mugumbule agambye nti Owek Musoke yakolera nnyo Buganda bweyali akyali omubaka wa Kabaka mu Washington n’okutuusa kati.
Katikkiro agambye nti mu mbeera ey’omusajja aggumidde, abadde yeetaaga okufuna omukyala asobola okumubeera kubanga obufumbo yeemu ku mpagi enkulu ennyo mu bulamu bw’omuntu.
Kamalabyonna agambye nti obufumbo bwetaaga nnyo okusimbibwa ku musingi omuggumivu obulungi naddala ogw’eddiini.
Mu ngeri yeemu abaweereza n’ekirabo.
Embaga eno yeetabyeko Abalangira n’abambejja, eyaloko Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Nelson Kawalya, eyaliko omumyuka wa president, Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi, Minister Charles Bakkabulindi n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K