
Police mu district ye Bukomansimbi erikumuyiggo,gwabantu abatanategerekeka abaasimudde ebisigalira by’omwana omuwere nebakuuliita nabyo.
Omulambo gw’omwana ogusimuddwa gubadde gwaziikibwa omwaka mulamba oguyise.
Omwana weyafiira yali aweza emyezi ebiri n’ekitundu egy’obukulu.
Lusse Micheal ne Nabakka Fatuma bannyini mulambo bagamba, nti beraliikirivu olw’ekikolwa eky’okubba omulambo gw’omwana wabwe olw’ekigendererwa ekitanaba kutegeerekeka.
Omwogezi wa Police mu bitundu ebyo Muhammad Nsubuga agambye nti batandise okunoonyereza ku baakoze ekikolwa ekyo, bwebanaazuulwa bavunaanibwe ogw’okulinnyirira eddembe ly’abafu.
Abatuuze mu Bukoba town council ewaziikuddwa omulambo gw’omwana bagamba nti ebikolwa ebya kalogo kalenzi ebikyase mu kitundu ekyo, byandiba nga byebyavuddeko ebikolwa ebyo.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior