Entiisa ebuutikidde abatuuze bómu Ndeeba mu Kampala okuliraana omuzikiti gwa Diniya, amataba g’enkuba efudembye ettuntu lino bwekuluggusiza omulambo ogutamanyiddwa gyeguvudde negusuula mu kitundu kyabwe.
Abatuuze bayise police eguggyeyo, wabula tegunamanyika bigukwataako.
Omugenzi abadde mu ka bbulawuzi aka kiragala n’empale ya Giini.
Bino bijidde mu kiseera ng’abantu abalala 3 bazuuliddwa nga baafiiridde mu nkuba, mu bitundu bye Nakawa mu kiro ekikeesezza olwaleero
Bisakiddwa: Sharif Lukenge