
Ensimbi enkalu n’ebyuma Presindent Yoweri Kaguta Museveni zeyawa abavubuka mu Kampala okulwanyisa obwavu bekulakualanye tezimanyiddwako mayitire.
Ensimbi zino okusinga zaabawebwa wakati wa 2019 -2020.
Bino bituukiddwako Minister w’ensonga za President Milly Babirye Babalanda yabadde asisikanye abakulembeze be gombolola ye Kawempe, Makindye ne Nakawa ng’abasomesa ku nkola eya Parish Development Model.
Zino zezimu ku nsimbi ezaaweebwa abavubuka abamanyiddwa nga ba Ghuetto Youths, ku nkomerero ya 2020 omulwanyisa obwavu.
Minister Babalanda agambye nti baakizuula obudde bugenze, ngénsimbi n’ebintu ebikalu president Museven byeyawa abavubuka mu Kampala, nti byawebwa abantu bakyamu nebabibba.
Minister Babalanda ategezezza nti n’ensimbi z’emyoga nazzo zizze zibbibwa abantu abakyamu, nti naye kuluno omuntu gwebanaakwata ng’azannyira mu nsimbi za Parish Development Model bajjamunyoola omukono.
Jovri Kaliisa amyuka akulira enkola ya Parish Development Model agambye nti abakulembeze abakulira enteekateeka y’ensimbi zino bwebanaakola obubi, beebajja okuleetera abantu okukyawa Government eno.