Abadde omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu sazza lye Southern California, Arizona ne Hawai mu America, Munnakatemba omugave Ndugwa Joseph Ssemakula aziikiddwa ku butaka ku kyalo Kimwanyi mu district ye Masaka mu Buddu.
Owek.Omugave Ndugwa yava mu bulamu bwensi eno nga 9 June,2022 mu America.

Mu bubaka bw`Obwakabaka obusomeddwa Minister w’eby`obulamu n’ebyenjigiriiza Owek Prosperous Nankindu Kavuma, atenderezza Omugave Ndugwa olwokutumbula olulimi Oluganda, obuwangwa nénnono zÓbwakabaka nga ayita mu kitone kya Katemba.
Obwakabaka busiimye omubiri gw`omugenzi neguganzikibwako bendera y`obwakabaka.

Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform era omuyimbi Robert Kyagulanyi Ssentamu atenderezza omugenzi Omugave Ndugwa olw`okweyambiisa obulungi ekitone kye nayitimusa obuwangwa n’ennono z’obwakabaka.
Kyagulanyi asiinzidde ku mikolo gy’okuziika Omugave,naasaba banna Uganda wamu nebanakibiina kye yonna gyebali, abagala okulaga okwemulugunya kwabwe, bakulage mungeri eweesa ekitiibwa nga teweebuula Bwakabaka.

Ku lwa government eyawakati, omumyuka wa ssaabawandiisi wa NRM Rosemary Namayanja Nsereko, ayogedde ku mugenzi ng’akoze ekyamaanyi okuyitimusa katemba, wamu n`okukwata ku banna bitone abalala.
Hajji Kasirye Nganda Mulya Nyama Mayor we Ggombolola ye Makindye , asabye abenju y`omugenzi Owek Omugave Nduggwa obutakungubaga, wabula bagyaguze bugyaguuza bulamu bwe, nti kubanga bingi alese abikoze ku nsi.
Omuteesiteesi omukulu owa Ministry y’ensonga z`omunda mu ggwanga Rtd. Gen Joseph Musanyufu, atendereeza nnyo omugenzi olwemirimu gyakoledde ensi ye wamu n`obwakabaka bwe.

Bannakatemba bangi bakungubagidde omugenzi era nga Alosius Matovu Joy ayiyiizza ekitontome ky’atoontomedde abakungubazi ekyogera ku bulamu bw`omugenzi.

Namwandu wòmugenzi Omugave Ndugwa, Sarah Elizabeth Ssemakula, yeyanzizza nnyo Maaso moogi olwékkula lye yasiima naawa bba, ery`okumulamulirako amassaza assatu mu America.

Omugave Ndugwa Joseph Ssemakula abadde mugundiivu mu kuyiiya n`okuwandiika emizannyo, yatandiikawo ebibina bya bannakatemba ebyenjawulo okuli Art for Life, Black Pearls, era nga mu ggwanga lya America yeyatandiikawo ekibiina Kya Buganda ey’enkya.
Ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi biziise omugave Ndugwa Joseph Ssemakula ku kyalo Kimwanyi mu Buddu.
Bisakiddwa: Musisi John
Ebifaananyi : Musa Kirumira