OMUBAKA WA DOKOLO SOUTH AGUDDE KU KABENJE

Mmotoka y'omubaka wa Dokolo south eyefudde

Omubaka akiikirira Dokolo South mu lukiiko lw'eggwanga olukulu Okot Odong n'abalala babiri bagudde ku kabenje.

Babadde batambulira mu mmotoka Land cruiser UBB 972 S eremeredde ddereeva waayo neegwa neyefuula. Babadde bagenda mu kibuga Lira okuliraana ekibira kya Agwata.

Baddusiddwa mu ddwaliro lya Lira Medical Centre nga embeera mbi ddala.

Ayogerera poliisi mu bendobendo lya East Kyoga Patrick Okema agambye nti bakyanoonyereza kukiviiriddeko akabenje.