Omubaka wa Bungereza mu Uganda Kate Airey asuubizza okunyweza obwasseruganda obwazimbibwa wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’obukulembeze obw’ennono obwa Bungereza.
Kate obweyamu buno abukoze akiise embuga mu Bulange e Mmengo, okusisinkana Kamalabyonna Charles Peter Mayiga okwebaza Obwakabaka olw’obubaka obubakubagiza, bwebaafiirwa Nnaabakyala queen Mary Elizabeth II, n’okwogera ku nsonga endala ez’enkulaakulana ezigasiza awamu abantu.
Omubaka Kate agambye nti omukwano wakati wa Buganda ne Bungereza guvudde wala bwatyo n’asuubiza okunyweza obwasseruganda obwo obwabangibwawo ba jjajja ffe.
Mu ngeri yeemu omukyala ono yeebazizza Katikkiro olw’enteekateeka ez’enkulaakulana z’abanzeewo okubbulula abantu ba Kabaka mu by’ensimbi.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza omubaka wa Bungereza Kati Airey okw’okufissa obudde okubakyalirako n’obweyamu bw’okukuuma omukwano n’obwasseruganda.m wakati wa Buganda ne Bungereza.
Katikkiro ategeezezza nti boogedde ne ku nsonga y’ekirwadde nnamutta ekya Ebola n’asaba banna Uganda okwongera okukyerinda nga bagoberera amateeka g’abakugu.
Awabudde abakyabalaatira mu nsonga y’ekirwadde kino nti basaanye okweddako n’obutasosonkereza government okuzza eggwanga ku muggalo.
Avumiridde nnyo abamu kubannaddiini abaaziikudde omuntu eyafa Ebola nti bamukoleko emikolo gy’eddiini ate ekyabaviiriddeko nabo okufa, n’asaba abantu obutagezesa Katonda.
“Ndowooza nti Katonda ategeera bulungi, bwotokola ddiini by’esomesa mu mbeera eno ey’obulwa, takunenya”.
Katikkiro asabye banna Uganda okugoberera obulungi amateeka g’abasawo omuli okudduka amangu mu bakugu nga bafunye obubonero bw’obulwadde buno, ate n’okwewala okuddukira mu basawo b’ekinnansi.
Ku nsonga y’obulwadde bwa Ebola, Kate Airey agambye nti ng’ekitebe kya Bungereza mu Uganda baakuyamba ku gavumenti mu byetaago n’engeri endala zonna ez’okulwanyisa obulwadde buno.
Kate Airey yakolerako mu ggwanga lya Sierra Leone emu ku nsi z’obugwanjuba bwa Africa ezaatawanyizibwa ennyo obulwadde bwa Ebola wakati wa 2014 ne 2016 omwafiira abantu 3955, bwatyo n’asaba banna Uganda obuteyibaala.
Ministry y’ebyobulamu egamba nti abantu abakunuukiriza mu 140 bakwatiddwa ekirwadde kino songa abasoba mu 40 baluguzeemu obulamu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.