
Embeera eyongedde okutabuka mu kibiina kya Democratic Party, Omubaka wa Bukoto Central Richard Ssebamala bweyerangiridde nti kati ye president wa Dp owékiseera era Dp empya etalina nkolagana na government.
Omubaka ono asinzide Mbale mu lukungaana lwabanna kibiina ,olwategekeddwa okusalira ekibiina amagezi,oluvannyuma lwa President wabwe Nobert Mao okutta omukago ne NRM.
Ssebamala agambye nti tebagenda kukkiriza kutundibwa nga byamaguzi basirike.
Nobert Mao yakoze endagaano ne president Museven ebibiina byebakulira NRM ne DP okukolera awamu.
Oluvannyuma lw’endagaano eno Nobert Mao yaweereddwa ekifo kya minister wa ssemateeka n’essiga eddamu mi government ekulirwa NRM.
Kino kyatabudde ababaka ba parliament aba DP ne bannakibiina abalala, nebalangirira nti Mao tebakyamunyi nga president wa DP era nebamusaba alekulire, wabula Nobert Mao yabigaanye.

Nokutuusa kati bannaDP ebibinja ebyenjawulo batuula bufoofofo okusalawo kyebazaako, era mu mbeera eyokutabulwa bingi byogeddwa.
Ssentebe wa district ye Kassanda Kasirye Zzimula naye akyasanguzza nti ababaka ba parliament aba DP omwenda bonna baali ku Hotel Africana, nga Norbert Mao agenda okusisinkana president Museveni era nti baabimanyaako.
Agambye nti Richard Lumu owa Mityana South era munnamateeka yeyasomye n’ekiwandiiko ekiraga enkola nga bweyabadde erina okubeera.
Ssentebe Zzimula abasabye bakuume amazima noobwenkanya ng’enkola ya DP bweyali okuva n’edda, baleme kwegaana Mao.

Wabula omubaka Richard Lumu bino byonna abiwakanyizza,nagamba nti ssentebe Kasirye Zzimula azannya byabufuzi ebyokusiiga ettoomi.