
Ababaka ba parliament abava mu bitundu bya Buganda balambudde ebitundu byonna ebyalimu ebibira bi nansangwa mu district ye Buikwe, nga byonna kati abantu baabisimbamu kalittunsi gwebatema buli kadde okwefuniramu ensimbi.
Ababaka bano bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya government mu parliament ne ssentebe wa Buganda caucus Muhammad Muwanga Kivumbi.
Ababaka bano balambuziddwa omubaka wa Buikwe South Dr.Mike Lulume Bayiga, nga balambudde egombolola ye Ngogwe, Ssi ne Bukunja.
Balambudde ekibira kya Mabira nebennyamira olw’embeera gyebakisanzeemu, nga kyonna kyolekedde okusaanaawo.
Omubaka Mathius Mpuuga Nsamba agambye ekitongole kya National Forestry Authority kyetaaga kiggibwewo, obuyinza bw’okukuuma n’okuzzaawo ebibira budde mu government ez’ebitundu.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher