Abantu basatu bakoseddwa ku luguddo lwa Northern bypass, omugoba wa boda boda ayingiridde oluseregedde lw’emmotoka za president Museveni ezibadde ziyitawo.
Bino bibadde ku nkulungo y’e Masanafu.
Owa bodaboda abadde ku pikipiki No.UPM 260 F abadde aweese abantu babiri, era bonna bafunye obuvune bw’amaanyi nebaddusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Abakoseddwa ye Maka Charles atwaliddwa mu ddwaliro mulago mu ‘scan’ okwekebejjebwa , Nabbanja Joan abadde n’owoluganda ku ddwaliro e Mengo gyatwaliddwa ne Elana Eric kigambibwa nti adduse nga yakatusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Kigambibwa nti emmotoka n’ebidduka byonna bibadde bisibiddwa okumala akaseera, wabula wabadde wakayiyawo emmotoka za president bbiri zokka, owa bodaboda kwekusimbula agende olwo emmotola endala ebadde mu luseregende gyemusanze neebasaabala.
Omwogezi w’eggye erikuuma president Maj. Jimmy O’Mara asabye abagoba b’ebidduka naddala aba boda boda okubeera abagumikiriza ng’emmotoka za president ziyitawo.
Bisakiddwa: Lubega Mudashir