Olwaleero ennaku z’omwezi ziri 5 October, 2022 lunaku lw’abasomesa munsi yonna , olw’ekwefumiitiriza ku mirimu gyabwe n’okubeebaza olw’okusomesa abaana b’ensi.
Wano mu Uganda emikolo emitongole gyakubaawo nga 11 November,2022.
Minister omubeezi ow’amatendekero aga waggulu Dr.JC Muyingo, agambye nti nga government bakimanyi nti abasomesa bakyasanga okusoomozebwa kungi, nti wabula bakola buli ekisoboka okubaako bwebayambibwamu.
Anokoddeyo omusaala ogukyali omutono naddala ku basomesa b’amasomo ga Arts, wabula nga nba science tebanagonjoolwa.
Ensula y’abasomesa mbi, batambula engendo mpanvu, endya nayo teyeyagaza n’ebirala
Minister Muyingo agambye nti baliko n’enteekateeka ekyabagibwa ‘National Teachers’ Policy, egendererwamu okwongera okulambika embeera z’abasomesa.
Uganda nga yegasse kunsi y’onna okukuza olunaku lwa basomesa, government eri munteekateeka eyokubangawo enkola egenderedwamu okutereeza embeera abasomesa.
Olunaku lw’abasomesa omwaka guno werutuukidde, ng’abasomesa bangi wano mu Uganda beyongedde okudduka omulimu guno nebeyunira emirimu emirala, gyebasuubira okufunamu ensimbi ezegasa.
Embeera y’omuggalo ogwaleetebwa covid 19 neguviirako amasomero okuggalwa emyaka 2, abasomesa abamu batandikawo obulimu obutonotono bwebaasigala bakola tebadda mu masomero kusomesa n’abandi baddukira mu mawanga ga Buwalabu okukuba ekyeyo.
Mu Uganda ebiwandiiko biraga nti buli musomesa wakiri asomesa abayizi 70 mu buli kibiina.
Katende Ramathan akulira abasomesa b’amasomo ga science mu Buganda agamba nti abasomesa bakyali batono nnyo bw’ogerageranya n’omuwendo gw’abayizi, ekireetera abasomesa okukola ennyo n’okukoowa ebitagambika,kyokka nga n’embeera mwebakolera ekyali mbi.