Olutindo lw’omugga Katonga olugatta district ye Gomba ku ye Kalungu,
Bukomansimbi, Masaka newalala amazzi galututte,
Ab’ebidduka tebakyasobola kuyitawo, abatambuza ebigere bokka bebayitawo nga basomokera ku miti egyatereddwawo abavubuka b’ekitundu, era ng’okuluyitako osooka kusasula okusinzira ku byolina nebwebizitowa.
Abavubuka abaatekawo ensomoko y’emiti n’ebibaawo batutegezezza nti kino
bakikola okwekolera kunsimbi z’ennaku enkulu, n’okuyamba abantu abatayina nsimbi zibetolooza makubo gewala.
Abatuuze nga basinga bweyambisa luguudo luno olwa Villa-Maria – Gomba
bakukulumidde government olwobutafaayo kutindira mugga Katonga, nga buli
nkuba lwetonnya babeera mukusoomozebwa.
Ssentebe we gombolola ye Lwabenge Ssegawa David nga wewasangibwa
omugga Katonga agamba nti kyekiseera government ekole oluguudo luno, nti kuba
abantu tebakyalina webayisa byamaguzi byabwe.
Wiiki ngeemu eyise ekitongole ky’enguudo ki UNRA kyaweereza wetiiye ku lutindo olwo, nekisaawo ettaka nebigoma ebitonotono abantu kwebayinza okugira nga bayita, wabula nabyo amazzi gaabitutte.
Minister omubeezi ow’amazzi n’obutonde bwensi Aisha Sekindi nga yemubaka omukyala owa district ye Kalungu agambye nti ensonga eno baagituusizza eri ekitongole ky’enguudo nekibasuubiza nti omulimu gwokuzaawo olutindo gwakuddamu nga 3rd January,2023.
Bisakiddwa: Kato Paul