
Ministry y’eby’obulamu, etandisewo enkolagana n’ebitongole ebyenjawulo okubangula abasawo mu ngeri y’okukuuma abalwadde obutatuusibwako bulabe nga bali mu malwaliro.
Mu nteekateeka eno mulimu okutangira abalwadde obutatuusibwako buvune, n’obutayongera kufuna ndwadde ndala zebasanga mu malwaliro.
Abasawo okwongera okulambika abalwadde ku nkozesa y’eddagala esaanidde, lireme kubatusaako bulabe.
Alipoota ezenjawulo zizze zifulumizibwa nga ziraga nti abantu abamu emibiri gyabwe giboola eddagala erimu, kyokka embeera eno oluusi tesooka kwekennenyezebwa basawo, ekiviirako abalwadde okufuna obuzibu olw’eddagala eribaweebwa.
Ebitongole ministry byekolaganye nabyo kuliko omukago ogutaba ebibiina ebitakabanira eddembe ly’abalwadde ogumanyiddwa nga Uganda Alliance of Patients’ Organizations, (UAPO), ekitongole ky’eby’eddagala ekya National Drug Authority, ekya Infectious Disease Institute Mulago ne bannakyewa abeekebakkeba eddimu ly’okusaasanya amawulire g’eby’obulamu aba Community Health and Information Network (CHAIN).
Dr. Fredrick Nelson Nakwagala, omusawo mu ddwaliro ekkulu erye Mulago agambye nti abasawo balina nokukyusa mu nnimi zebakozesa nga bawandiikira abalwadde eddagala, nga kisaanidde okubuuza omulwadde olulumi lwasinga okutegeera, okumunyonyola enkozesa y’eddagala obulungi.
Regina Namata Kamoga, akulira bannakyewa aba CHAIN, agambye nti enkolagana gyebagenzeemu egendereddemu okukola ennambika enagobererwa ku nkolagana y’abalwadde n’abasawo okutumbula embeera y’obujanjabi ennungi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis