Police erangiridde ebikwekweto ku bagoda b’ebidduka naddala bodaboda zegamba nti zezisinga okuviirako obubenje mu Uganda.
Ebikwekweto bino yeemu ku ntegeka ekoleddwa police okulwanyisa obubenje mu nnaku enkulu.
Alipoota ya police ekwata ku bubenje obwagwawo mu mwezi oguwedde ogwa October, obubenje 1378 bwebwagwawo era nemufiiramu abantu 257.
Faridah Nampiima omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga ategezeza nti ebikwekweeto ku bodaboda bigenda kutandiika ku ntandiikwa ya wiiki ejja nga 7 November
Nampiima ategezezza nti mu bikwekweto bino bagenda kusinga kutunuulira abavuzi ba bodaboda abatambala bikoffiira, abatambala bujacket obuyitibwa reflector Jackets ate naabo abavuga obubi nga bali ku nguudo
Mu mbeera yemu Faridah Nampiima ategezeza nti bakizudde nti abagoba ba pikipiki bangi batomeddwa nga bali ku luguudo olw’obutamanya mateeka ga nguudo.
Abamu ku bakulembeze b’abavuzi ba bodaboda abakolera mu Kibuga Kampala nga bakulembeddwamu Ndugwa Charles ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu Kampala Central, bakukulumidde ekitongole kya KCCA ne Ministry y’eby’entambula okubasuulawo.
Bagamba nti ebitongole bino byabaawuddiisa nti bigenda kubafunira ebisanyizo ebyetagiisa okuvugira boda boda mu Kampala nekitakolebwa, oluvanyuma lw’okubagyamu ssente kyebagamba nti kati kibatadde mu kattu wakati nga police y’ebidduka erangiridde okubakolako ebikwekweto.
Ndugwa agambye nti ebintu byonna police y’ebidduka byetunulidde okukwata ku pikipiki zabwe byebimu ku bintu aba KCCA ne Ministry y’eby’entambula, byebasuubiza okubakolera bweyabatwala mu musomo ogwategekebwa aba UDISA mu ntekateeka ezaaliwo ez’okutereeza boda boda mu Kampala.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico